Genesis 48:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli n'agamba Yozefu nti: “Wuuno nze nfa, Katonda ajja kubeera nammwe, alibazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Laba nnaatera okufa, naye Katonda anaabanga wamu nammwe, era alibazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Laba nnaatera okufa, naye Katonda anaabanga wamu nammwe, era alibazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri n'agamba Yusufu nti Laba, nfa: naye Katonda anaabanga wamu nammwe, alibazza nate mu nsi ya bajjajja bammwe.