Genesis 48:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe, kubanga okira baganda bo, nkuwadde Sekemu, gwe nawamba ku Baamori n'ekitala n'akasaale kange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri n'agamba Yusufu nti naye ggwe, nkwongeddeko omugabo gumu okusinga baganda bo, kye kitundu ky'e Sekemu kye nnawamba ku ba Amoli nga nkozesa ekitala n'omutego gwange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekitundu eky'e Sekemu ekigimu, kye naggya ku Baamori nga nkozesa ekitala kyange n'omutego gwange, nkiwadde ggwe, sso si baganda bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nkuwadde ggwe omugabo gumu okusinga baganda bo, gwe nnaggya mu mukono gw'omu Amoli n'ekitala kyange n'omutego gwange.