Genesis 48:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'aŋŋamba nti: ‘Nzija kukuwa ozaale, weeyongere obungi; nzija kukuggyamu eggwanga ly'abantu; ŋŋenda kukuwa ensi eno n'ezzadde lyo eririkuddirira ebeere yammwe emirembe gyonna.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza, ndikwongera, ndikufuula ekibiina ky'amawanga; era ndiwa ezzadde lyo eririddawo ensi eno, okuba obutaka obw'emirembe n'emirembe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'aŋŋamba nti: ‘Ndikuwa abaana bangi, bazzukulu bo ne mbafuula amawanga mangi. Era ndiwa bazzukulu bo ensi eno, ebe yaabwe emirembe gyonna.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'aŋŋamba nti Laba, ndikwaza, ndikwongera, ndikufuula ekibiina ky'amawanga; era ndiwa ezzadde lyo eririddawo ensi eno okuba obutaka obw'emirembe n'emirembe.