Genesis 48:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalala b'oliba ozadde ne badda ku bano baliba babo, naye balituumibwa amannya mu busika bwabwe nga babbulwa mu baganda baabwe, Efurayimu ne Manasse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abo abaakuzaalirwa oluvannyuma lwabwe baliba babo, banaayitibwa amannya ga baganda baabwe mu mugabo gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana b'olizaala okudda ku bano be baliba ababo, era obusika balibufunira ku baganda baabwe abo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana b'olizaala ne badda ku bano, be baliba ababo, era obusika balibufunira ku baganda baabwe abo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ezzadde lyo, ly'onoozaalanga oluvannyuma lw'abo, linaabanga liryo: banaatuumibwanga erinnya lya baganda baabwe mu busika bwabwe.