Genesis 48:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe nali nva e Paddani, nnyoko Rakeli n'anfaako mu nsi Kanaani bwe twali nga tusigazizzaayo ebbanga ttono okutuuka e Efurati. Ne mmuziika awo ku kkubo erigenda e Efurati, kati ye Beteleemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe najja ng’ava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri n’anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange, bwe nnali nva mu Padani, Laakeeri n'anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga wakyasigaddeyo ebbanga ddeneko okutuuka e Efulansi; ne mmuziika eyo ku kkubo erigenda e Efulasi, ye Besirekemu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino nkikoze olwa nnyoko Raakeeli. Bwe nali nga nva mu Paddani, yanfaako mu nnaku ey'ekitalo, mu nsi ya Kanaani, mu kkubo, nga wakyasigaddeyo ebbanga okutuuka mu Efuraati, ne mmuziika eyo ku kkubo erigenda mu Efuraati, ye Betilehemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange, bwe nnava mu Padani, Laakeeri n'anfaako mu nsi ya Kanani mu kkubo, nga wakyaliyo ebbanga ddeneko okutuuka ku Efulasi: ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda e Efulasi (ye Besirekemu).