Genesis 48:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'agamba kitaawe nti: “Be batabani bange Katonda be yampeera mu kifo kino.” N'agamba nti: “Baleete wano, mbawe omukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.” N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'addamu kitaawe nti, “Be baana bange, Katonda be yampeera wano mu Misiri.” N'amugamba nti, “Nkwegayiridde Baleete mbasabire omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'addamu kitaawe nti: “Be baana bange, Katonda be yampeera wano.” Yisirayeli n'agamba nti: “Baleete we ndi, mbasabire omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'agamba kitaawe nti Be baana bange Katonda be yampeera wano. N'ayogera nti Baleete, nkwegayiridde, nange naabasabira omukisa.