Genesis 49:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yalaba nga walungi okuwummulira, n'ensi nga bw'esanyusa, ekibegabega n'akikutamya kyetikke omugugu, n'assibwa ku mirimu gy'akasanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi; nga n’ensi esanyusa; n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula, n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alaba okuwummula nga kulungi, N'ensi nga ya kwesiima; N'akutamya ekibegabega kye okwetikka, N'afuuka omuddu akakibwa okukola emirimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alaba ng'ekifo ekiwummulirwamu kirungi, era nga n'ensi yeesiimisa, n'akutamya ekibegabega kye okwetikka, n'afuuka omuddu akakibwa okukola emirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alaba okuwummula nga kulungi, N'ensi nga ya kwesiima; N'akutamya ekibegabega kye okusitula, N'afuuka omuddu alagirwa emirimu.