Genesis 49:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yozefu, muti ogubala, omuti ogubala okumpi n'amazzi; amatabi gaagwo galandira ku kisenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu lye ttabi eribala ennyo, ettabi eribala ennyo eriri ku mugga; abaana be babuna bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu gwe muti ogubala ennyo. Oguli okumpi n'ensulo y'amazzi; Amatabi gaagwo gaagaagalidde waggulu w'ekisenge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yosefu gwe muti ogubala ennyo, oguli okumpi n'ensulo y'amazzi, amatabi gaagwo gaagaagadde waggulu w'ekisenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu lye ttabi eribala ennyo. Ettabi eribala ennyo awali oluzzi; Abaana be babuna bbugwe.