Genesis 49:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka emitego gyabwe gyakalambala n'ebinywa by'emikono gyabwe ne bita, olwa Nnyinibuyinza owa Yakobo, olw'Omusumba, Olwazi lwa Yisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye omutego gwe ne gunywera, n’emikono gye ne gitasagaasagana. Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo, olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi, N'emikono gye ne giweebwa amaanyi, agava eri ow'Obuyinza Katonda wa Yakobo Omusumba era olwazi Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omutego gwe ne gunywerera ddala, emikono gye ne giweebwa amaanyi agava eri ow'Obuyinza Katonda wa Yakobo, Omusumba era Omukuumi wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi, N'emikono gy'engalo ze ne giweebwa amaanyi, Eri emikono gy'Omuyinza wa Yakobo, (Omuva omusumba, ejjinja lya Isiraeri,)