Genesis 49:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwa Katonda wa jjajjaawo akuyamba, olw'Omuyinza wa buli kantu akuwa omukisa: emikisa egy'eggulu waggulu, emikisa egy'eddubi eryebase eyo wansi, emikisa egy'amabeere, n'egy'olubuto,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba, olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa, omukisa oguva waggulu mu ggulu, omukisa ogwa wansi mu buziba, omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye Katonda wa kitaawo, anaakubeeranga, Ye Muyinza w'ebintu byonna, anaakuwanga omukisa, Omukisa oguva mu ggulu waggulu, N'omukisa oguva wansi mu nnyanja, N'omukisa ogw'okuzaala n'okuyonsa
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo Ye Katonda wa kitaawo, era Ye anaakuyambanga. Ye Muyinzawaabyonna anaakuwanga omukisa n'emikisa egiva waggulu mu ggulu, n'emikisa egiva wansi mu ttaka, n'emikisa egy'okuzaala n'okuyonsa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye Katonda wa kitaawo, anaakubeeranga, Ye Muyinza w'ebintu byonna, anaakuwanga omukisa, Omukisa oguva mu ggulu waggulu, N'omukisa oguva mu nnyanja egalamira wansi, N'omukisa oguva mu mabeere, n'oguva mu lubuto.