Genesis 49:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emikisa gy'eŋŋano n'ebimuli, emikisa gy'ensozi ez'edda, n'okwegombesa kw'obusozi obwa ddi na ddi; bibeere ku mutwe gwa Yozefu ne ku kyenyi ky'oyo omulangira mu baganda be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukisa gwa kitaawo gusinga omukisa gwa bajjajjange, gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda. Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu, gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukisa gwa kitaawo Gusingidde ddala omukisa gwa bajjajjange Okutuusa ku nsalo ey'enkomerero ey'ensozi ezitaliggwaawo; Gunaabanga ku mutwe gwa Yusufu Ne ku bwenyi bw'oyo eyayawulibwa okuva ku baganda be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emikisa gya kitaawo, gisingira ddala emikisa egy'oku nsozi ez'olubeerera n'ebirungi eby'oku busozi obutaggwaawo. Emikisa egyo gibeerenga ku mutwe gwa Yosefu, ku bisige by'oyo eyayawulibwa ku baganda be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukisa gwa kitaawo Gusingidde ddala omukisa gwa bajjajja bange, Okutuusa ku nsalo ey'enkomerero: ey'ensozi ezitaliggwaawo: Gunaabanga ku mutwe gwa Yusufu.