Genesis 49:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo byonna bye bika bya Yisirayeli ekkumi n'ebibiri. Ebyo kitaabwe bye yabagamba lwe yabawa omukisa, buli omu n'amuwa omukisa nga bw'agwanira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byonna bye bika bya Isiraeri ekkumi n'ebibiri (12); n'ebigambo kitaabwe bye yabagamba ng'asabira buli omu kubo omukisa ogwamusaanira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna bye bika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli, era ebyo bye bigambo kitaabwe bye yabagamba ng'asabira buli omu ku bo omukisa ogwamusaanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo byonna bye bika bya Isiraeri ekkumi n'ebibiri: n'ebyo kitaabwe bye yababuulira n'abasabira omukisa; buli muntu ng'omukisa gwe bwe gwali bwe yabasabira bw'atyo omukisa.