Genesis 49:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyaddako, n'abakuutira nti: “Ndi kumpi okulaga eri abantu bange; munziike ne bajjajjange mu mpuku y'e Makupela eri mu nnimiro ya Efuroni Omukitti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yakobo n'akuutira abaana be, n'abagamba nti, “Bwe ndifa muntwalanga ku butaka, ne mu nziika awali bajjajjange mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo n'akuutira abaana be, n'abagamba nti: “Ŋŋenda okutwalibwa eri bajjajjange. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efurooni Omuhiiti,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakuutira, n’abagamba nti ŋŋenda okutwalibwa awali abantu bange: munziikanga wamu ne bajjajja bange mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,