Genesis 49:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mpuku mu nnimiro y'e Makupela okumpi ne Mamure mu nsi Kanaani, empuku Yiburayimu gye yagula awamu n'ennimiro ya Efuroni Omukitti ebeere obutaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eri e Makupeera, mu maaso ga Mamule, mu nsi ya Kanani, Efulooni Omukiiti gye yaguza Ibulayimu awamu n'ennimiro, okuba obutaka obw'okuziikangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
e Makupela, ebuvanjuba bwa Mamure, mu nsi ya Kanaani. Aburahamu yagula empuku eyo wamu n'ennimiro, ku Efurooni Omuhiiti, ebe obutaka obw'okuziikangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, eri mu maaso ga Mamule, mu nsi ya Kanani, Efulooni Omukiiti gye yaguza Ibulayimu awamu n'ennimiro okuba obutaka obw'okuziikangamu: