Genesis 49:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo gye baaziika Yiburayimu ne Saara mukazi we; eyo gye baaziika Yizaake ne Rebekka mukazi we, era eyo ne Leya gye namuziika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala mukazi we; gye baaziika Isaaka ne Lebbeeka mukazi we; era eyo gye nnaziika Leeya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwo mwe baaziika Aburahamu ne Saara mukazi we, mwe baaziika ne Yisaaka ne mukazi we Rebbeeka, era omwo mwe baaziika Leeya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala mukazi we; eyo gye baaziika Isaaka ne Lebbeeka mukazi we; era eyo gye nnaziika Leeya: