Genesis 49:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n'asoweka ebigere bye mu buliri, n'assa omukka omuvannyuma, n'agattibwa ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'agalamira ku kitanda kye, n'assa omukka gwe ogw'enkomerero. N'atwalibwa eri abantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'afunya amagulu ge ku kitanda, n'assa omukka gwe omuvannyuma, n'atwalibwa eri bajjajjaabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'afunya amagulu ge ku kitanda, n'ata obulamu, n'atwalibwa eri abantu be.