Genesis 49:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwa kusuukiira ng'amazzi, tokyasinga. Kubanga wawalampa ekitanda kya kitaawo, walinnya n'ogwagwawaza obuliri bwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa, kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo, mu nnyumba yange, n’okyonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Atafugika ng'amazzi agawaguzza; toliba mukulu; Kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo; N'okigwagwawaza, Weebaka mu buliri bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okulugguka ng'amazzi. Toliba mukulu, kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo n'okiweebuula. Wayingira mu buliri bwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulebevu ng'amazzi tolisinga; Kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo: N'okigwagwawaza: yalinnya ku kiriri kyange.