Genesis 49:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Siiyingire gye bateeseza, seetabe mu nkiiko zaabwe, kubanga mu busungu batta abantu, mu ssanyu lyabwe ne basala enteega z'ennume.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe. Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo. Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu, olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe emmeeme yange, tojjanga mu lukiiko lwabwe; Ggwe ekitiibwa kyange, teweegattanga n'ekibiina kyabwe; Kubanga olw'obusungu bwabwe batta omusajja, N'olw'eddalu lyabwe baatema ente olunywa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Siryetaba nabo mu nkiiko zaabwe, wadde okwegatta nabo mu nkuŋŋaana zaabwe, kubanga mu busungu bwabwe, batta abasajja, era mu ddalu lyabwe, baatema ente enteega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe emmeeme yange, tojjanga mu lukiiko lwabwe; Ggwe ekitiibwa kyange, teweegattanga n'ekibiina kyabwe; Kubanga olw'obusungu bwabwe batta omusajja, N'olw'eddalu lyabwe baatema ente olunywa.