Genesis 49:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda mwana gwa mpologoma. Odda ng'ova okuyigga, mwana wange; ng'empologoma ensajja, obwama n'ogalamira, ng'empologoma enkazi, ani akwaŋŋanga okukuzuukusa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda, mwana w’empologoma. Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo. Yakutama, yabwama ng’empologoma. Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda, olinga omwana gw'empologoma; Okomyewo mwana wange, ng'ova okuyigga. Yakutama, yabwama ng'empologoma ensajja, Oba ng'empologoma enkazi; ani anaagisaggula?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda oli ng'empologoma ento: okomyewo mwana wange, ng'ova mu kuyigga. Okutamye n'obwama ng'empologoma ensajja, oba ng'empologoma enkazi. Ani anaakugolokosa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda ye mwana w'empologoma; Olinnye mwana wange, ng'ovudde ku muyiggo: Yakutama, yabwama ng'empologoma, Era ng'empologoma enkazi; ani anaamubuusa?