Genesis 5:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye kitabo ky'ezzadde lya Adamu. Ku lunaku Omukama lwe yatonda omuntu, yamukola mu nfaanana ya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Luno lwe lulyo lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kye kitabo ky'olunnyiriri lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukolera mu kifaananyi kya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Luno lwe lukalala lw'abazzukulu ba Adamu. Katonda bwe yatonda abantu, yabatonda ne bamufaanana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino kye kitabo eky'okuzaalibwa kwa Adamu. Olunaku Katonda lwe yatonderamu omuntu, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamukolera;