Genesis 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate Kenani bwe yamala okuzaala Maalaleeli yawangaalayo emyaka emirala lunaana mu ana. Yazaala abaana abalenzi n'abawala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu ana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kenani n'awangaala emyaka emirala lunaana mu ana (840). Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kenani n'awangaala emyaka emirala lunaana mu ana. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kenani n'awangaala bwe yamala okuzaala Makalaleri emyaka lunaana mu ana, n’azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: