Genesis 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Maalaleeli bwe yamala okuzaala Yaredi yawangaalayo emyaka emirala lunaana mu asatu; yazaala abaana abalenzi n'abawala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yamala okuzaala Yaredi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Makalaleri n'awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu (830) ng'amaze okuzaala Yaledi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mahalaleeli n'awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Makalaleri n'awangaala bwe yamala okuzaala Yaledi emyaka lunaana mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: