Genesis 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabatonda omusajja n'omukazi, n'abawa omukisa, n'abayita erinnya lyabwe muntu ku lunaku lwe baatondebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ya batonda omusajja n'omukazi; n'abawa omukisa. Bwe yabatonda n'abayita omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yatonda omusajja n'omukazi, n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya nti “Bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omusajja n'omukazi bwe yabatonda; n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya lyabwe Adamu ku lunaku lwe baatonderwamu.