Genesis 5:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatambuliranga mu Katonda, olumu n'aba nga takyaliwo, kubanga Katonda yamutwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enoka n'atambulira wamu ne Katonda, so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obulamu bwe bwonna yabumala wamu ne Katonda, oluvannyuma n'atalabikako nate, kubanga Katonda yamutwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enoka n'atambulira wamu ne Katonda: so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala.