Genesis 5:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamutuuma Nowa, ng'agamba nti: “Ono alitukubagiza olw'okukuluusana kwaffe n'okukabassana olw'ettaka Omukama lye yavumirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti, “Ono ye alituleetera okuweerako mu mirimu gyaffe, ne mu kutegana kwaffe mu nsi Mukama gye yakolimira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Ono ye alituleetera okuweerako mu mirimu gyaffe, ne mu kutegana kwaffe, mu nsi Mukama gye yakolimira.” N'amutuuma erinnya Noowa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti Ono ye alitusanyusa mu mulimu gwaffe ne mu kutegana okw’emikono gyaffe olw’ensi Mukama gye yakolimira.