Genesis 5:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Seti bwe yamala okuzaala Enosi yawangaalayo emyaka emirala lunaana mu musanvu; yazaala abaana abalenzi n'abawala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Seezi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu (807) ng'amaze okuzaala Enosi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Seeti n'awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Seezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enosi emyaka lunaana mu musanvu n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala;