Genesis 50:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakanaani ab'omu kitundu ekyo bwe baalaba enkungubaga eyo e Goreni-Atadi, ne bagamba nti: “Kuno okukungubaga kwa kitiibwa Abamisiri kwe bakola” Ekifo ekyo emitala wa Yorudani kyebaava bakituuma Abeli-Mizurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ab’omu nsi, Abakanani, bwe baalaba okukungubaga mu gguuliro lya Atadi ne bagamba nti, “Okukungubaga kuno kwa ntiisa eri Abamisiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Aberumizirayimu, ekiri emitala wa Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ab'omu nsi y'e Kanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguuliro lye Atadi, ne boogera nti, “Abamisiri nga bakaaba nnyo!” Ekifo ekyo kye kyava kituumibwa erinnya Aberumiziraimu, ekiri emitala wa Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abatuuze b'omu Kanaani bwe baalaba abantu abo, nga bakaabira mu kifo awawuulirwa eŋŋaano eky'e Atadi, ne bagamba nti: “Abamisiri nga bakaaba nnyo!” Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa erinnya Abeli Misurayimu. Kiri mitala wa Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abaatuulanga mu nsi, Abakanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguliro lya Atadi, ne boogera nti Okukaaba kuno kungi eri Abamisiri: kyeryava lituumibwa erinnya Aberumiziraimu, ekiri emitala wa Yoludaani.