Genesis 50:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baamutwala mu nsi Kanaani ne bamuziika mu mpuku y'e Makupela, Yiburayimu gye yali agulidde mu nnimiro ebeere obutaka bwe obw'okuziikangamu. Yagigula ku Efuroni Omukitti okumpi ne Mamure.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo abaana be ne basitula omulambo gwa kitaabwe ne bagutwala mu nsi ya Kanani, ne baguziika mu mpuku eri mu nnimiro y'e Makupeera ebuvanjuba bwa Mamule. Ibulayimu yagula empuku awamu n'ennimiro ku Efulooni Omukiiti, okuba obutaka obw'okuziikangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne basitula omulambo gwe, ne bagutwala mu nsi ya Kanaani, ne baguziika mu mpuku ey'omu nnimiro y'e Makupela, ebuvanjuba bwa Mamure, Aburahamu gye yagulira awamu n'ennimiro, ku Efurooni Omuhiiti, okuba obutaka obw'okuziikangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe kityo abaana be ne bamusitula ne bamutwala mu nsi ya Kanani, ne bamuziika mu mpuku ey'omu nnimiro ya Makupeera, Ibulayimu gye yagula awamu n'ennimiro, okuba obutaka okuziikangamu, eri Efulooni Omukiiti, eri mu maaso ga Mamule.