Genesis 50:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu bwe yamala okuziika kitaawe, n'akomawo mu Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaali bambuse naye okuziika kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe n’addayo e Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaayambuka naye okuziika kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe, n'addayo mu Misiri wamu ne baganda be, ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu bwe yamala okuziika kitaawe, n'addayo mu Misiri wamu ne baganda be, ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'addayo mu Misiri ye ne baganda be ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe, bwe yamala okuziika kitaawe.