Genesis 50:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganda ba Yozefu bwe baalaba nga kitaabwe afudde ne balowooza nti: “Sikulwa nga Yozefu atuyigganya n'ayagala okwesasuza olw'ebibi byonna bye twamukola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti, “Osanga Yusufu ajja kutukyawa yeesasuze olw’ebibi byonna bye twamukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amaze okufa, ne boogera nti, “Mpozzi Yusufu ajja kutukyawa, yeesasuze obubi bwonna bwe twamukola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganda ba Yosefu bwe baalaba nga kitaabwe amaze okufa, ne bagamba nti: “Oboolyawo Yosefu ajja kutukyawa, yeesasuze ekibi kye twamukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe yafa, ne boogera nti Mpozzi Yusufu agenda okutukyawa, n'okutuwalanirako ddala obubi bwonna bwe twamukola.