Genesis 50:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Bino bye mugambanga Yozefu nti: Nkwegayiridde, sonyiwa baganda bo ebisobyo n'ebibi bye baakola bwe baakuyisa obubi, naffe tukwegayirira osonyiwe ekisobyo ekyo abaweereza ba Katonda wa kitaawo.’ ” Yozefu n'akaaba olw'ebigambo bye baamugamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
yatugamba tukugambe nti, ‘Sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n'ekibi kyabwe, kubanga baakukola bubi.’ Naffe kaakano tukwegayiridde sonyiwa okwonoona kw'abaddu ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu n'akaaba amaziga bwe baamugamba ebigambo ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
yatugamba tukusabe nti: ‘Sonyiwa omusango n'ekibi kya baganda bo, kubanga kye baakukola kibi nnyo.’ Era kaakano tukwegayiridde, tusonyiwe ekibi kye twakola, ffe abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yosefu n'akaaba amaziga bwe baamugamba ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo bwe muligamba Yusufu nti Nkwegayiridde kaakano, sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n'ekibi kyabwe, kubanga baakukola bubi: ne kaakano, tukwegayiridde, sonyiwa okwonoona kw'abaddu ba Katonda wa kitaawo. Yusufu n'akaaba amaziga bwe baayogera naye.