Genesis 50:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era baganda be ne bajja gy'ali ne bagwa wansi mu maaso ge, ne bagamba nti: “Tuli baddu bo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baganda be ne bagenda gy’ali ne beeyala mu maaso ge ne bagamba nti, “Laba, tuli baddu bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo baganda be ne bajja ne bavuunama mu maaso ge, ne bagamba nti, “Kaakano tuli baddu bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo baganda be era ne bajja, ne bavuunama mu maaso ge, ne bagamba nti: “Tuutuno tuli baddu bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baganda be n'okugenda ne bagenda ne bavuunama mu maaso ge; ne boogera nti Laba, tuli baddu bo.