Genesis 50:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alagira abasawo be abamuweereza bazirage kitaawe Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’alagira abaweereza be abasawo, okukalirira omulambo gwa kitaawe. Bwe batyo abasawo ne bakalirira omulambo gwa Isirayiri;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'alagira abaddu be abasawo okukalirira kitaawe. Abasawo ne bamukalirira Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'alagira abaweereza be abasawo, okukaza omulambo gwa kitaawe. Abasawo ne bakaza omulambo gwa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'alagira abaddu be abasawo okukalirira kitaawe: abasawo ne bakalirira Isiraeri.