Genesis 50:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe mwagenderera kunkola bubi, ye Katonda n'akiviisaamu ekirungi, alyoke atuukirize ekiriwo: okuwonya abantu abangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwagenderera okunnumya, naye Katonda n’akifuula ekirungi, n’akikozesa abantu baleme okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe, mwayagala okunkolako obubi, naye Katonda n'ankolera ebirungi nga bwe kiri kaakano, asobole okuwonya abantu abangi okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe mwayagala okunkola ekibi, naye Katonda n'ayagala kiveemu ekirungi okuwonya obulamu bw'abantu abangi, abakyali abalamu kati, olw'ekyo ekyabaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe, mwali mwagala okundeetako ebibi; naye Katonda yali ayagala okundeetako ebirungi, nga era bwe kibadde, okuwonya abantu abangi baleme okufa.