Genesis 50:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno muleke kutya. Nze nzija kubalabirira, mmwe n'abaana bammwe.” N'abagumya, n'ayogera nabo na kisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe n’abaana bammwe.” Bw’atyo n’abagumya n’abazaamu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano temutya; nnaabalabiriranga mmwe n'abaana bammwe abato. Bw'atyo n'abagumya n'ebigambo ebyo eby'ekisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temubaako kye mutya. Nja kubalabiriranga mmwe, n'abaana bammwe abato.” Bw'atyo n'abagumya n'ebigambo eby'ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano temutya: nnaabaliisanga mmwe n'abaana bammwe abato. Naabasanyusa, nnaabagamba eby'ekisa.