Genesis 50:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alaba batabani ba Efurayimu okutuuka ku bazzukulu bannakasatwe; ne batabani wa Makiri, mutabani wa Manasse, baazaalirwa ku maviivi ga Yozefu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alaba abaana ba Efulayimu, abazzukulu ab’omugigi ogwokusatu. Era n’alaba n’aba Makiri mutabani wa Manase abaazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'alaba ku baana ba Efulayimu, abazzukulu bannakasatwe; era n'aleera ku baana ba Makiri mutabani wa Manase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alaba abaana n'abazzukulu ba Efurayimu. Era n'alera ku baana ba Makiri, mutabani wa Manasse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n’alaba abaana ba Efulayimu bannakabirye: era n'abaana ba Makiri omwana wa Manase baazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.