Genesis 50:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'agamba baganda be nti: “Nnaatera okufa. Kituufu Katonda agenda kubalambula, abaggye mu nsi eno abambuse mu nsi gye yalayirira Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira n’abalinnyisa okubaggya mu nsi eno; n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'agamba baganda be nti, “Ndi kumpi kufa, naye Katonda talirema kubajjira n'abaggya mu nsi eno, okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'agamba baganda be nti: “Ndi kumpi okufa, naye Katonda talirema kubalabirira mmwe n'okubaggya mu nsi eno, okubatwala mu nsi gye yalayirira Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'agamba baganda be nti Nfa: naye Katonda telirema kubajjira n'okubaggya mu nsi eno okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.