Genesis 50:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'alayiza batabani ba Yisirayeli nti: “Kituufu Katonda alibalambula; amagumba gange mugambusanga okuva wano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’alayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti, “Katonda alibakyalira, nammwe mulinyisanga amagumba gange okugaggya wano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yusufu n'alayiza abaana ba Isiraeri ng'abagamba nti, “Katonda talirema kubajjira, era nammwe mutwalanga amagumba gange okugaggya mu nsi eno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosefu n'alayiza abaana ba Yisirayeli ng'abagamba nti: “Katonda talirema kubalabirira, era mutwalanga amagumba gange okugaggya mu nsi eno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'alayiza abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira, nammwe mulitwala amagumba gange nga mugaggya muno.