Genesis 50:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku ez'okukungubaga bwe zaggwa, Yozefu n'agamba ab'omu lubiri lwa Faraawo nti: “Obanga nsanze ekisa mu maaso gammwe, muŋŋambire Faraawo nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ennaku ez’okukungubagiramu Yakobo bwe zaggwaako, Yusufu n’ayogera n’ennyumba ya Falaawo, n’agamba nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso gammwe munjogerereyo ewa Falaawo. Mumugambe nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti, “Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, muŋŋambire Falaawo nti
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku ez'okumukungubagira bwe zaggwaako, Yosefu n'agamba ab'omu nnyumba ya kabaka nti: “Mbeegayiridde muŋŋambire kabaka nga
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, mwogerere mu matu ga Falaawo nti