Genesis 50:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Kitange yandayiza n'agamba nti: “Wuuno nfa; onziikanga mu ntaana yange gye neesimira mu nsi Kanaani.” Kale nno nzikiriza nyambuke nziike kitange, nkomewo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Kitange yandayiza ng’agamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mw’onziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitange yandayiza ng'ayogera nti, ‘Bwe nfanga munziikanga mu ntaana gye nneesimira eri mu nsi ya Kanani.’ Kale kaakano nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende nziike kitange, nkomewo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kitange bwe yandayiza nti: ‘Ndi kumpi okufa. Mu ntaana gye nneesimira mu nsi ya Kanaani, mw'olinziika.’ Kale kaakano nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende nziike kitange era ndikomawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitange yandayiza ng'ayogera nti Laba, nfa: mu ntaana gye nneesimira mu nsi ya Kanani mw'olinziika. Kale kaakano nkwegayiridde, nnyambuke, nziike kitange, era ndikomawo.