Genesis 50:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ennyumba ya Yozefu yonna, ne baganda be, n'ennyumba ya kitaawe. Abaasigala bokka be baana abato, endiga zaabwe n'ente zaabwe ebyo baabireka mu nsi y'e Goseni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ab’ennyumba ya Yusufu, ne baganda be, n’ab’ennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyumba yonna eya Yusufu, ne baganda be, n'ennyumba ya kitaawe nabo ne bagenda; okuggyako abaana baabwe abato, endiga n'ente zaabwe ebyo byokka bye baaleka mu kitundu ky'e Goseni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu nnyumba ya Yosefu bonna, ne baganda be, n'ab'omu nnyumba ya kitaawe bonna, ne bagenda naye. Abaana baabwe abato, n'endiga n'embuzi n'ente zaabwe, bye baaleka mu kitundu ky'e Goseni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ennyumba yonna eya Yusufu, ne baganda be n'ennyumba ya kitaawe: abaana baabwe abato, n'endiga zaabwe n'ente zaabwe ebyo byokka bye baaleka mu nsi y'e Goseni.