Genesis 6:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba Nowa nti: “Nsazeewo, enkomerero ya buli muntu etuuse, kubanga ensi ejjudde obukambwe olw'abantu, nze nno ŋŋenda kubazikiriza wamu n'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'agamba Nuuwa nti, “Maliridde okusaanyawo buli ekirina omubiri, kubanga nsi ejjudde obwonoonefu bwabyo, n'olw'ekyo nja kubizikiririza wamu n'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba Noowa nti: “Nsazeewo okuzikiriza abantu bonna, kubanga ensi ejjudde eby'obukambwe bye bakola. Kale nja kubazikiririza wamu n'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'agamba Nuuwa nti Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjudde eddalu ku lwabwe; kale, laba, ndibazikiriza wamu n'ensi.