Genesis 6:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'oti bw'onookikola: obuwanvu bw'ekyombo bubeeere emikono ebikumi bisatu, obugazi, emikono amakumi ataano, ate obusimba bwakyo, emikono amakumi asatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’oti bw’oba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Likole nga lya mikono bisatu (300) obuwanvu, emikono ataano (50) obugazi, n'emikono asatu (30) obugulumivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Likole nga lya mita kikumi mu asatu mu ssatu obuwanvu, mita amakumi abiri mu bbiri obugazi, ne mita kkumi na ssatu obugulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'otyo bw'okolanga: emikono ebikumi bisatu obuwanvu bw'eryato, n'emikono ataano obugazi bwalyo, n'emikono asatu obugulumivu bwalyo.