Genesis 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze ŋŋenda okuleeta amazzi g'omujjuzi ku nsi, nzite buli kintu ekiramu wansi w'eggulu, buli kyonna ekiri ku nsi kijja kusaanawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli kiramu, ekissa omukka, ekiri wansi w’eggulu; buli ekiri ku nsi kya kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw'obulamu wansi w'eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kuleeta omujjuzo gw'amazzi ku nsi okuzikiriza buli kiramu kyonna. Buli kintu ku nsi kijja kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange, laba, nze ndireeta amataba ag'amazzi ku nsi, okuzikiriza ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw'obulamu wansi w'eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa.