Genesis 6:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukola endagaano naawe, ggwe ojja kuyingira ekyombo, ggwe ne batabani bo, ne mukazi wo, ne bakaabaana bo bayingire naawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe, n'abaana bo, ne mukazi wo, n'abakazi b'abaana bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ndikola naawe endagaano. Oliyingira mu lyato, ggwe ne mukazi wo, n'abaana bo, era ne bakazi baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe n'abaana bo, ne mukazi wo, n'abakazi b'abaana bo wamu naawe.