Genesis 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
batabani ba Katonda ne balaba bawala b'abantu nga babalagavu, ne beefunira mu bo abakazi okuva mu bonna be baalondanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Katonda ne balaba ng’abawala abo balungi ne bawasa buli gwe beerondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga mu bo bonna be baayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi, ne bawasaamu be baayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda.