Genesis 6:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ggwe weetwalire ku buli kika kya mmere ekiriibwa, weeterekere; y'eriba emmere yo nabyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo n’ebiramu byo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe weetwalire emmere yonna eriibwa abantu, n'ey'ebitonde ebirala byonna ebirina obulamu ebiri naawe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Otwalanga n'otereka ku buli kika kya mmere eyiyo gy'olirya, ne ku buli kika kya mmere eyaabyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe weetwalire ku mmere yonna eriibwa, ogyekuŋŋaanyize; eriba mmere gy'oli ggwe nabyo.