Genesis 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba nti: “Omwoyo gwange tegulisigala mu muntu mirembe gyonna, kubanga mubiri bubiri; ennaku ze ziriba myaka kikumi mu abiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera nti, “Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri, naye anaawangaalanga emyaka egitasukka kikumi mu abiri (120). ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Sijja kuleka bantu kuwangaala mirembe na mirembe, kubanga ba kufa. Banaawangaalanga emyaka egitasukka mu kikumi mu abiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.