Genesis 6:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu biseera ebyo, era ne mu biseera ebyaddirira batabani ba Katonda okwewasiza bawala b'abantu ne babazaalira abaana, ku nsi kwaliko Banefili; be baabo abantu abazira abatutumufu ab'emirembe egy'edda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta n’abawala b’abantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo, waaliwo Abanefiri mu nsi, abaazaalibwa abaana ba Katonda mu bawala b'abantu, abo be bantu ab'amaanyi era abaayatiikirira mu mirembe egy'edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biro ebyo, ne mu biseera ebyaddirira, waaliwo abantu abawagguufu, abaazaalibwa abaana ba Katonda mu bawala b'abantu. Abo be bantu ab'amaanyi era abaayatiikirira mu mirembe egy'edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala b'abantu, ne babazaalira abaana: bano be b'amaanyi abaasooka edda, abantu abaayatiikirira.