Genesis 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yalaba ng'obwonoonefu bw'omuntu bungi mu nsi, nga na buli kirowoozo kya mutima gwe kyewunzikidde ku kibi kyokka obudde bwonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ebbanga lyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alaba obubi bw'omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bwe yalaba ng'abantu boonoonese nnyo ku nsi, era nga balowooza bibi byereere mu mitima gyabwe bulijjo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'alaba obubi bw'omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.